Kiyindi ne Buvuma bafunye ekidyeeri ekipya ekya MV Palm

Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule evunaanyizibwa ku byobulimi, obulunzi wamu n’obuvubi Maj. Gen. (Rtd) David Kasura Kyomukama yakwasiddwa MV Palm ekiddyeeri ekipya ekyafuniddwa nga bayita mu National Oil Palm Project n’obuyambi okuva mu International Fund for Agricultural Development (IFAD). Ekidyeeri kino ekya MV Palm kyakukozesebwa okusaabaza wabantu wakati wa Kiyindi ne Buvuma era nga kitikka abantu 519 n’emotoka 25. Kino kyazimbiddwa Kkampuni ya M/S Songoro Marine Transport Limited.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply