Breaking
News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,305 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Kitalo! Ow’emyaka 18 yewadde obutwa lwakugaana ssimu

January 8, 2022 · Mubiru Ali

Abatuuze ku kyalo Kiringa, Bweramule Sub County mu Disitulikiti y’e Ntoroko baguddemu ekyakango omwana omuwala ow’emyaka 18 bweyekamiridde emimbiri emuserengesezza ezzirakumwa oluvannyuma lwakitaawe okumukuba namuwambako n’essimu ye eya smartphone.

Vin Karungi 18, nga yatuula ekibiina ekyomusanvu ku Rwamabale Primary School yeyasowaganye ne Kitaawe Nestoli Kasagaki bwebayombedde essimu omuwala gyeyabadde yakafuna nga agikozesa awaka.

Kigambibwa nti Karungi yakomawo n’essimu awaka ku lunaku olwokubiri bwebamubuuza ani agimuwadde nagaana okwogera, enkeera kitaawe kwekusalawo okugiwamba nagitaleka olwo nagenda okulunda ente ze.

Kitaawe nga avuddewo Karungi yanoonya essimu ye nagifuna naddamu okugikozesa, kitaawe bweyadda okuva mu ffaamu namusanga nga agikozesa, yanyiiga namukuba. Kyazuulibwa nga wayiseewo essaawa nti Karungi yali yewadde obutwa era naddusibwa mu ddwaliro lya Virika hospital mu Kibuga Fort Portal gyeyabadde atwaliddwa okujanjabwa.