Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 203 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Kitalo! Omuntu omu afiiridde mu kabenje

January 3, 2022 · Mubiru Ali
Kitalo!
Omuntu omu afiiriddewo mbulaga n’abalala 4 nebaddusibwa mu ddwaliro ng’embeera yaabwe mbi nnyo oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje ku kyalo Lupada mu Naboa Town Council mu Disitulikiti y’e Budaka ku luguudo lwa Mbale – Tirinyi.
Okusinziira ku mwogezi wa Uganda Police Force ow’ettuntundu ly’e Bukedi Alaso Immaculate agamba nti emotoka ekika kya Toyota Wish nnamba UBF 520D yeremeredde omugoba waayo neggwa nettirawo omuntu omu ategeerekese nga ye Gesa Rogers n’abalala 4 nebalumizibwa okuli; Kagenda Stephen 52 omutuuze w’e Bunyolo B Kamonkoli Sub-county mu Disitulikiti y’e Budaka, Biisa Justus 30, nga mutuuze w’e Kaiti Naweyo Subcounty mu Disitulikiti y’e Butaleja, Kulenza Zaituna 52, Omutuuze w’e Kasasira mu Disitulikiti y’e Kibuku, ne Kote Mwajuma 21, omutuuze w’e Kasasira mu Disitulikiti y’e Kibuku.