Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekya Poliisi y’ebidduka ASP Fred Nampiima avuddeyo ku kabenje akagudde mu Mabira; “Poliisi yaffe e Najjembe okuliraana Najjembe Trading Centre mu Mabira ku luguudo lwa Jinja – Kampala mu Disitulikiti y’e Buikwe olunaku lw’eggulo nga 1-01-2022 yatutegeezeza nti wabaddwo akabenje omwafiiridde abantu 3 omwabadde n’omwana omuto ate abalala 6 nebalumizibwa byansusso.
Akabenje kano kabadde emotoka 2 okwabadde Toyota Corona Premio nnamba UAL 958Q ne Trailer ekika kya Man nnamba UAZ 558P/UAL 793X. Abafudde bategeerekese nga Kalema Yunus 31 okuva e Walusubi Trading Centre e Mukono nga ono yeyabadde avuga Premio, Lutwama Rajab 48, owe Walusubi Mukono n’omwana omuto omuwala myaka 4 atategeerekese mannya ge.
Abakyala abasatu n’omusajja omu omukulu bbo tebanategeerekeka mannya gaabwe wabula bbo abaana 2 kyategeerekese nti omu wamyaka 13 ne Mayimuna 7 baana ba Lutwama Rajab eyafiiriddewo.
Kigambibwa nti Ddereeva wa Premio Kalema babadde bava Jinja emotoka yamulemeredde newaba neva mu lane mweyabadde nesala nedda kuludda olulala neyingirira tuleela eyabadde evugibwa Takwana Karim 57 eyabadde eva e Kampala okudda e Jinja.
Abalumiziddwa baddusiddwa mu Ddwaliro lya Mulago National Referral Hospital okufuna obujanjabi ate ggyo emibiri gyabo abafudde gyatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro ly’e Kawolo.”
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.