Kitalo! Abantu 3 bafiiridde mu kabenje e Migyera

Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force, ekivunaanyizibwa ku bidduka Faridah Nampiima; “Poliisi e Migyera olwaleero etegeezeddwako ku kabenje akaguddewo olwaleero nga 17-5-2022 ku ssaawa ttaano ezookumakya, takisi nnamba UAX 303F ebadde eva e Masindi ng’edda Kampala.
Akabenje wekagudde oba onatera okuttuuka mu Ttawuni y’e Migyera. Kigambibwa nti takisi eyabise omupiira neremerera omugoba waayo neggwa neyefuula nettirawo abantu 3, abakyala 2 n’omwana omuto omuwala. Abalumiziddwa baddusiddwa mu Ddwaliro okufuna obujanjabi.”
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply