Kibalama adduse mu Ggwanga

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Eyatandikawo ekibiina kya NURDP oluvannyuma ekyafuuka National Unity Platform Moses Nkonge Kibalama kigambibwa nti adduse mu Ggwanga nayolekera ekibuga Nairobi mu Kenya ngagamba nti waliwo abamutiisatiisa okumutta.

Kigambibwa nti waliwo ababadde baweereza Kibalama obubaka nga bamutiisatiisa okumutta oluvannyuma lweyatongoza ekitebe kya NUP ekirala mu Lubaga mu June 2022.

Wabula oluvannyuma Kibalama ne banne bayimirizibwa Akakiiko k’ebyokulonda Aketengeredde aka Independent Electoral Commission nga kagamba nti Robert Kyagulanyi Ssentamu aka ┬áBobi Wine ye Pulezidenti wa NUP gwekamanyi mu butongole.

Paul Ssimbwa eyalondebwa ng’omwogezi wa NUP ye Lubaga avuddeyo nakakasa nti ddala Kibalama yadduse mu Ggwanga.

Share.

Leave A Reply