Kayihura afuumudde abapoliisi 7 e Kwempe

Aduumira Police mu ggwanga General Kale Kayihura afuumudde ba Ofiisa ba Police musanvu mulamba ku Police y’e Kawempe, nga n’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango, Ruth Katusiime mw’omutwalidde

Kino kizze  nga wayise olunaku lumu nga Ssentebe wa Disitulikiti y’e Nakasongola, Sam Kigula akukkulumidde Ssabapoliisi Kayihura olw’aba Ofiisa bano okusukka ebitundu mwebalina obuyinza nebayoola abantu.

Kigula ategeezezza Ssaabapoliisi nti ba Ofiisa bano okuva ku Police e Kawempe baagenda e Nakasongola ku lwomukaaga lwa ssabbiiti ewedde ku kyalo ekimanyiddwa nga Wabigalo ekiri mu Tawuni Kanso y’e Nakasongola nebagombamu obwala Disan Musisi ateeberezebwa okuba mu misango gy’ebyettaka nga tebategeezezza ku Police ya kitundu ekyo wadde omukulembeze yenna.

Ayongerako nti bano baakuba n’omukka ogubalagala mu bantu ssaako n’amasasi mu bbanga nga bagezaako okwetakkuluza ku batuuze abaali bataamye obugo nga tebabakkiriza kutwala Disan Musisi  gwebaakwata nga tebafunye lukusa kuva mu b’obuyinza abatwala ekitundu ekyo, era wano n’asaba Kayihura abakoleko ng’obuyinza bwebulagira .

Kigula bino abifuuye Kayihura mu musomo  Ssaabapoliisi mwasisinkanidde abaduumira Police mu zi Distulikiti ne mubitundu eby’enjawulo ssaako n’abakulembeze b’ekitundu oguyindira  ku Luweero Guest House e Lweero nga muno mulimu ba Ofiisa okuva mu bitundu bya Sezibwa, Savannah ne  Wamala .

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu  Njeru municipality, mu Disitulikiti y'e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa.

Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu.

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu Njeru municipality, mu Disitulikiti y`e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa.

Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu.
...

34 2 instagram icon
Nolwaleero lubadde Dj Jet B azze nate akukube omuziki oyite bute! Bakube omuziki baguwulire.

Nolwaleero lubadde Dj Jet B azze nate akukube omuziki oyite bute! Bakube omuziki baguwulire. ...

5 0 instagram icon
N'omuntu akukyaawa nakulukuuta omukuku gw'ebbaluwa naye taba mwangu?! Sheila Gashumba akoze atya Rickman Manrick?! Mpozzi omukulu yagamba ono mutabani wa Kony!?

N`omuntu akukyaawa nakulukuuta omukuku gw`ebbaluwa naye taba mwangu?! Sheila Gashumba akoze atya Rickman Manrick?! Mpozzi omukulu yagamba ono mutabani wa Kony!? ...

4 0 instagram icon