Katikkiro agamba nti abantu balonze si lwa muyaga

Katikkiro Charles Peter Mayiga yabadde omugenyi omukulu ku mukolo gwa Muky. Alice Nakyejwe Kiwafu nga aweza emyaka 98.
Omukolo gubadde ku kyalo Bukasa e Buloba
Katikkiro agambye nti okubala emyaka omuntu gyamaze kunsi ssi kyekikulu, wabula okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwetuba nabwo kyekikulu.
Ku kulonda, Katikkiro agambye nti abantu baalonze abakulembeze baabwe ssi lwa muyaga, wabula baalonze nga balina kyebalondoola era asabye abakulembeze abaalondeddwa okusoosowaza ensonga za Buganda .Era abasabye obukiise bwabwe babutambulize ku nsonga Ssemasonga ettaano eza Buganda.
Omukolo gwetabiddwako Omutaka Muteesasira Namuyimba Tendo, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, ne bannabyabufuzi.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply