Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road, Dr. Douglas Singiza enkya yaleero awadde ensala ye kukusaba okweyimirirwa ku kakalu ka Kkooti okw’omuwandiisi Kakwenza Rukirabashaija mu musango ogumuvunaanibwa gw’okuvvoola wamu n’okulengezza omukulembeze w’eggwanga Pulezidenti
Yoweri Kaguta Museveni wamu ne Mutabani we Omuduumizi w’eggye lya
UPDF eryokuttaka Lt. Gen.
Muhoozi Kainerugaba.
Omulamuzi amukirizza okweyimirirwa agende afuna obujanjabi ku kakalu ka Kkooti ka mitwalo 50 egyobuliwo, era namuteekako obukwakulizzo obwamaanyi nti takirizibwa kuwandiika oba kwogera ku musango guno awantu wonna nti singa anakikola wakuzibwayo mu mbuzzekogga.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.