
OSOBOLA OKUGAANA OKUGULIRIRIRWA NGA TOTIDDE KUSIIGA NZIRO – ANNAH ASHABA
13 — 10
Omubaka wa Ibanda South yetisse amazzi okulaga obulumi abantu be bwebayitamu
13 — 10Omulamuzi Margaret Tiburya avuddeyo olunaku olwaleero nafulumya ‘Release Order’ ya eyali Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi Herbert Kabafunzaki nga agamba nti ono yatuukiriza obukwakulizo obwamuweebwa Kkooti oluvannyuma lwokusingisibwa omusango gwokulya enguzi yabukadde 5 okuva ku musigansimbi.
Kabafunzaki yasasudde obukadde 10 obwamulagibwa okusasula nga bwebumulema yali wakusibwa emyaka 3.
Omulamuzi ategeezezza nti kati ono wa ddembe okuddamu okwetaaya nti wabula ssente zeyawaayo okumweyimirira zo sizakumuddizibwa kuba teyalabikako mu kkooti nti era wakumala emyaka 10 nga takola mulimu gwa Gavumenti gwonna.