Giweze emyaka 3 bukyanga Bobi Wine ayuguumya Kyaddondo East

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Olwaleero giweze emyaka 3 bukyanga Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine avaayo okuleetawo enkyuukakyuka mu byobufuzi okubizza mu Bavubuka.
Nga 31 May 2017, yewandiisa nakirizibwa okwesimbawo ku kifo ky’Omubaka wa Kyaddondo East.
“Nze wamu ne ttiimu yange wamu n’abantu b’e Kyaddondo abanteekamu obwesige Katonda abadde naffe.
Ndi mwetegefu okukwasa akati ka Kyaddondo East eri munnankyuukakyuka omulala eyewaddeyo okulwanirira eddembe nga ngenze wali ku Kyoto. Bwetuba nga twakikola e Kyaddondo, ndi mugumu nga Katonda yemubeezi waffe tusobola okukikola mu Yuganda yonna.”

People Power – Uganda Bobi Kyagulanyi Mc Norman Joel Ssenyonyi

Share.

Leave A Reply