Gavumenti tegenda kukendeeza ku misolo mugume – Minisita Kasaija

Mukaweefube akolebwa Gavumenti ya Yuganda okumanyisa Bannayuganda ku biri mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka 2022/2023 Minisitule evunaanyizibwa ku by’ebyensimbi n’okuteekerateekera Eggwanga yatongozza omwezi mulamba mwegenda okuyita okukuŋŋaanya ebirowoozo bya Bannansi ku mbalirira n’okusingira ddala ku byebandyagadde.
Minisita Matia Kasaija weyasinzidde okutegeezezza Bannayuganda nga Gavumenti bwetalina nteekateeka yonna okukendeeza ku misolo ku bintu ebimu okusobozesa emiwendo gy’ebintu okukkakkana nga agamba kuno kubeera kwekuba ndobo.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply