Gavumenti esazizzaamu endagaano gyeyakola ne SGS

Gavumenti evuddeyo nesazzaamu endagaano gyeyakola ne kkampuni ya SGS mu 2017 ey’okwekebejja embeera y’emotoka zonna eziri mu Ggwanga. Okusinziira ku Minisita avunaanyizbwa ku by’amawulire ne Tekinologiya, Dr. Chris Baryomunsi Gavumenti esazizaamu endagaano eno oluvannyuma lw’okukizuula nti erina obusobozi okwekolera omulimu gweyali egiwadde.
Kati Uganda Police Force, ne Minisitule evunaanyizibwa ku byenguudo n’ebyentambula by’ebigenda okukola omulimu guno.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply