
Okweyimirirwa kwa Noah Mutwe ne Charles Twine kuwanvuye
17 — 06
Ekereziya epondoose ntuddiza ekyapa kya Nakibuuka – Musajjakaawa
17 — 06Katikkiro Charles Peter Mayiga ayagala Gavumenti ekole enguudo kisobozese amakampuni n’abasuubuzi okutuusa eby’amaguzi ku bantu.
Katikkiro agamba nti enguudo naddala ezireeta eby’amaguzi eri abantu zisaana zikolebwe zituukane n’omutindo olwo kampuni ezikozesa enguudo zisobole okukula ziganyulwe eggwanga.
Okwogera bino Katikkiro abadde asisinkanye abakulira kampuni ya langi eya Plascon ku Bulange nga bano bagenda kusiiga ebizimbe by’obwakabaka okuli Bulange, Masengere, Twekobe, Butikkiro, n’ebirala mu Masaza nga batambulira mu buufu bw’omukago gwe batta n’obwakabaka kati emyaka 7 ogw’okuddaabiriza endabika y’ebizimbe bino nga babisiiga langi bifune obwenyi obunyirivu.
Agambye nti kampuni bwekula abavubuka bafuna emirimu, Gavumenti efuna omusolo oguzimba e ggwanga, n’ategeza nti kampuni ziyimirirawo ku kutuukiriza n’okufaayo kw’ebyo ebikwata ku bantu era Palscon bwevaayo okuwagira enteekateeka z’obwakabaka kiraga nti bafaayo ku bikwata ku bwakabaka ne Uganda.
Santosh Gumta, Ssenkulu wa Plascon yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okusoosowaza abantu baakulembera okulaba nga bakulaakulana.
#ffemmwemmweffe