Gavumenti ekendeeze ku nsaasanya gyekola ku bantu abatalina makulu – Kizza Besigye

Munnakibiina kya Forum for Democratic Change – FDC Rt. Col. Dr. Kizza Besigye; “Kyetugamba nti mukendeeza kunsaasaanya ku bintu ebitalina makulu. Tetwetaaga Baminisita 82 okukolera omuntu omu, Amerika erina ebyenfuna ebyamaanyi erina Baminisita 15. Abantu abo bonna abatalina mugaso abakola ogwokwetala tetubetaaga, nga ne Mukama waabwe tabamanyi n’amannya. Tulina abawabuzi ba Pulezidenti abasoba mu 130 nga buli omu akimbanyi nti tebalina kyebawabula, mpozzi nga baliwo kuwabulwa Tibagaburwa.”

Leave a Reply