FRED LUMMBUYE AKYAKUUMIRWA TURKEY – HON. NKUNYINGI:

Omubaka wa Kyaddondo East Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Nkunyingi Muwada avuddeyo nategeeza nga bwasisinkanye Omubaka wa Turkey mu Yuganda HE. KEREM ALP namutegeeza nga Fred lumbuye kajjubi bwakyali mu Ggwanga lya Turkey nga tali ku Poliisi oba mu kkomera wabula nga akuumirwa ku Immigration Centre nti era mulamu nti era alina eddembe okwogera ne Bannamateeka be. Muwada agamba nti agamba nti yakwatibwa lwa visa ye okuba nga yaggwako (expired Immigration Status).
Muwada ayongedde nategeeza nti Ababeezi ba Minisita avunaanyizibwa ku nsonga zebweru w’eggwanga okuli Okello Oryemu ne Paul Mugamba bamukakasizza nti Lumbure tebamuleeta nga mu Yuganda wadde okusibirwa ku kitebe kyonna ekya Yuganda kuba tebamulinaako kakuku konna.
https://youtu.be/WjUcxpm91w4
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply