FDC muveeyo mukolagana ne NRM mu lwatu temwebuzaabuza – Norbert Mao

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Ssemateeka era Ssenkaggale w’ekibiina ki Democratic Party Uganda, Norbert Mao avuddeyo nasaba abakulembeze mu Kibiina kya Forum for Democratic Change bakomye okukolagana n’ekibiina ekiri mubuyinza ekya National Resistance Movement – NRM mu nkukutu wabula baveeyo bakolagane nakyo mu lwatu okusinga okuwudiisa Bannayuganda.
Bino Mao abyogeredde mu lukuŋŋaana lwa Bannamawulire nategeeza nti ekiri mu FDC kiraga nti ebiwayi byombi biyina kyebirwanira mu kyaama ekiviiriddeko abakulembeze okusika omuguwa ekisusse era n’abasaba batuule bakkaanye.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply