Eyaliko omubaka wa Yuganda e Canada afiiridde e Kalungu

Kitalo!
Eyaliko omubaka wa Yuganda e Canada, Amb. Joseph Tomusange afudde. Ono yafiiridde mu Ddwaliro lya Villa Maria mu Disitulikiti y’e Kalungu gyeyaweebwa ekitanda ku lunaku olwokutaano wiiki ewedde.
Ono abadde yawummula emirimu nga abeera ku kyalo Kigaba, Butenga sub county, mu Disitulikiti y’e Bukomansimbi.
Tomusange yaliko omubaka wa Yuganda e Kenya 2001 – 2006, nasindikibwa e Denmark okutuusa mu 2009, eyo gyeyava nasindikibwa e South Africa n’oluvannyuma e Canada okutuusa 2012 bweyakomezebwawo nafuulibwa omuwabuzi wa Pulezidenti.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply