Eyali CAO wa Kasese asindikiddwa mu nkomyo

Akakiiko akalwanyisa obuli bwenguzi n’obukenuzi okuva mu Maka g’omukulembeze w’Eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne Uganda Police Force katutte eyali CAO wa Kasese, Masereka Amis Asuman ne Principal Human Resource Officer Bihanikire Samson mu Kkooti ku misango okuli okukozesa obubi offiisi zaabwe wamu n’okufiiriza Gavumenti Ssente. Bano basindikiddwa ku alimanda. Kigambibwa nti bano nga bakozesa offiisi zaabwe bazza abasomesa 6 ku lukalala lwa Gavumenti so nga bano baali balekulira emirimu gyabwe emyaka 10 egiyise nabadda mu byobufuzi.
Bano bazibwa ku mirimu nebasindikibwa mu masomero agenjawulo nebatandika okufuna omusaala ekyafiiriza Gavumenti obukadde obusoba mu 20.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply