Breaking
News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga agguddewo mayiro ya Bulungibwansi ku kyalo Kiryammuli mu ggombolola ya Ssaabawaali Gombe. Asimbye omuti
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 536 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Eryato libidde mu Nnyanja Nalubaale

May 5, 2022 · Mubiru Ali
Eryato eribadde litisse abasaabaze libidde mu Nnyanja Nalubaale mu bizinga by’e Kalangala n’omuwendo gw’abantu abatanategeerekeka mu kiro ekikeesezza olwaleero.
Kigambibwa nti eryato lino eribadde mu mbeera mbi libadde lisaabaze abantu okuva ku mwalo gw’e Kasenyi mu Katabi Town Council, mu Disitulikiti y’e Wakiso nga libwatwala ku kizinga Kisaaba mu Disitulikiti y’e Kalangala.
Okusinziira ku Bavubi bagamba nti eryato lirabika lyafunye obuzibu oluvannyuma lwobutimba obwabadde butegeddwa okukwata ebyennyanja okuggwa mu yingina yaalyo. Moses Musiitwa nga yomu ku bavubi ku mwalo gw’e Kasenyi agamba eryato lyabidde wakati w’e Bizinga Lukuba ne Misenyi oluvannyuma lwokukubwa omuyaga ogw’amaanyi. Okusinziira ku Bavubi bagamba nti ennyanja ebaddeko omuyaga ogw’amaanyi okuva olwomukaaga lwa wiiki ewedde nga guleeta amayengo agamaanyi ku nnyanja nga balowooza nti kiyinza okuba nga kyekyavuddeko eryato okubbira.
Musiitwa agamba nti yadde nga waliwo abavubi abatuuse amangu okutaasa naye tebalina gwebazudde nga kirowoozebwa nti abasabaze abamu bandiba nga basimatusse nebaddukira ku jjinja eddene eriri mu kitundu ekyo akabenje wekagudde.
Ye Ssentebe wa LC5 owa Kalangala, Rajab Ssemakula ne Julius Kawalya, omu ku batuuze bagamba nti eryato lyandiba nga lyabidde n’abasaabaze 20 kuba abamu bavuddeko ku mwalo gw’e Lukuba mu Kalangala.
Ssemakula agamba nti abamu ku basaabaze ababadde bagenda e Kisaaba bavuddeko ku lyato lino nebakozesa booda booda olw’embeera yobudde eyabadde embi.
Ssemakula ayongerako nti waliwo abantu abali ku mayinja agenjawulo mu nnyanja nga bagezaako okubataasa babagyeyo naye nga mu kaseera kano tebamanyi bameka abafudde. Neyabadde agolomola eryato kigambibwa nti naye yasimatuse.
ย 
Courtesy Photo