Breaking
News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza…. News: Liirino eggwanga lyabantu ngomusajja okuwasaayo atwala mitwe gya nte ne bamuwa omuwala singa gimulema okwanjula kuba kugaanyi.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 189 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

ENGINEER EYALI AKULIRA OKUZIMBA KALINA EYAGWA E LUKULI YALINA SATIFIKEETI MU KUKUBA MATAFAALI

September 27, 2021 · Mubiru Ali
Okunoonyereza kukizudde nti Engineer Christopher Ruhambya Bbaandi w’ekizimbe ekyali kizimbibwa e Lukuli, Makindye mu May 2020 n’ekitta abantu 13 yali alina satifikeeti mukukuba matofaali.
Kino kyeyolekedde mu alipoota eyakoleddwa National Building Review Board (NBRB) oluvannyuma lwokunoonyereza ku kabenje kano.
Nannyini kizimbe kino Abraham Kalanzi ne Engineer Ruhambya bakwatibwa Uganda Police Force nga 20, May 2020, oluvannyuma lw’enaku 10 nga ekizimbe kigudde nebaggalirwa ku Poliisi y’e Kabalagala.
Ruhambya bweyalabikako mu Kakiiko ka NBRB yategeeza nti bweyatuula ekibiina kya Siniya eyokuna yagenda okusoma satifikeeti mu kukuba amatafaali ku Kisubi technical school, gyemalira emisomo gye mu 1978. Agamba nti yatandika okukola, bweyabuzibwa ebiwandiiko byabadde akozesa okuzimba nabategeeza nti abadde akozesa bumanyirivu bwe olw’emyaka gyamaze mu kisaawe kino nga azimba nga talina Pulaani yonna.