Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 279 listening Simba FM Live

Ekyuuma kya Cancer kigaddwawo okuddabirizibwa

June 4, 2018 · Mubiru Ali

Nga wakayita emyezi 6 gyokka nga ekyuuma ekikozesebwa okukalirira abalwadde ba Cancer kyakugulwawo okutandika okukola emirimu ku Uganda Cancer Institute e Mulago, ku lw’okutaano lwa week eyise kyayimiriziddwa okukola emirimu gyakyo okusobola okukilako okudabiriza (service).

Kino kyamalwo obuwumbi bubiri obwa ssente za Uganda era nga kyatongozebwa 19 – January – 2018 nga kidira mu bigere ekyaliwo nga kyafa mu March 2016 nga kikoledde emyaka 22.

Dr. Henry Mwebesa yasambaze engambo ezibadde ziyitingana nti ekyuuma kino kyafudde. Yayongeddeko ngamba nti ng’ekyuuma kyonna nakyo kyetaaga okuddabirizibwa oluvannyuma lw’ebbanga. Era yategezeza nti ekyuuma kino kikyalina ‘warranty’ era kiddabirizibwa ku bwereere kkampuni eyakibaguza eya UJP-Praha era nga kirina n’omukugu akivunaanyizibwako nga asuubirwa okutuuka mu ggwanga nga June 7 atandike omulimu nga june 8 okutuuka nga june 10 olwo kiddemu okukola nga june 11.