Omubaka akiikirira Kira Municipality avuddeyo nawakanya ekimu ku birowoozo ebiri mu bbago ly’Omubaka Lumu nategeeza nti kigenda kuteekawo ekyokulabirako ekikyaamu ennyo mu demokulasiya wa Uganda. Ssemujju agamba nti obutakkaanya bwebalina n’akulira oludda oluwabula Gavumenti si kyekirina okubasindikiiriza okukyuusa etteeka olwokuba tebamwagala. Ssemujju agamba nti Ekibiina ekisinga ku ludda oluvuganya kisinziira ku kalulu kabonna, wadde okiriziganya naye oba tokiriziganya naye bwobaggyako obuyinza okulonda abakulembera mu Palamenti obeera obanyigirizza. Ayongeddeko nti tasuubira nti bino birina kugonjoolwa na tteeka.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.