Enanga alabudde Bobi Wine n’abawagizi be

Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga yavuddeyo nawanjagira abawagizi ba National Unity Platform – NUP abavaayo mu bungi nebeyiwa ku nguudo olwo nebakola oluseregende olutambula empola nti kino kyabulabe eri bbo wamu n’omukulembeze wa NUP. Poliisi ebasabye okulaba nti bino byonna bikolebwa mu ngeri enuŋŋamu etali yabulabe olwo kisobozese Bannakibiina kya NUP okukozesa obulungi eddembe eribaweebwa Ssemateeka.
Poliisi egamba nti kino ekikola okutuukiriza obuvunaanyibwa bwayo obwokukuuma Bannayuganda wamu n’ebyabwe.
Enanga agamba nti okusinziira ku ngeri NUP kyekunga abantu baayo, okutambulira mu luseregende ate empola ennyo ekitaataganya ebyentambula, okukozesa abakuumi abatali batendeke, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine okuvaayo nalabikira waggulu w’emotoka wakati mu bantu abangi abamuwagira, abamwagaliza n’abalala kyemuteeka mu katyabaga kokulumbibwa abatujju.
Enanga agamba nti bakugenda mu maaso n’okuwa aba NUP obukuumi mu nkuŋŋaana zebanakuba mu Town Hall awali obukuumi eri abazze nga Poliisi esobola okubakebera obulungi. Ono abajjukizza okukolagana n’abakulira ebyokwerinda mu Disitulikiti gyebaba bagenze.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Mu kkomera e Luzira, abasibe benyigira mu mirimu egyenjawulo.

Mu kkomera e Luzira, abasibe benyigira mu mirimu egyenjawulo. ...

39 2 instagram icon
🔥🔥🔥Ekikadde Live 97.3 Kusimba Yogera Wotudde Osabe Nakayimba #SuremanSsegawa Atandise Kati Kati 
#RadioSimba973
#suremanssegawa

🔥🔥🔥Ekikadde Live 97.3 Kusimba Yogera Wotudde Osabe Nakayimba #SuremanSsegawa Atandise Kati Kati
#RadioSimba973
#suremanssegawa
...

13 0 instagram icon
Bannakibiina kya National Unity Platform okuli Ababaka ba Palamenti MP Zaake Francis Butebi, Ttebandeke Charles n'abalala baleeteddwa mu Kkooti mu ya LDC okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa.

Bannakibiina kya National Unity Platform okuli Ababaka ba Palamenti MP Zaake Francis Butebi, Ttebandeke Charles n`abalala baleeteddwa mu Kkooti mu ya LDC okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa. ...

27 0 instagram icon
Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police  Patrick Onyango avuddeyo ku ttemu eryaliwo e Kyengera abantu 2 bwebakubwa amasasi agabattirawo nategeeza nti gwebakutte agambibwa okukuba amasasi gano agamba nti naye yali yetaasa kuba yali awambiddwa.

Bya Kamali James

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo ku ttemu eryaliwo e Kyengera abantu 2 bwebakubwa amasasi agabattirawo nategeeza nti gwebakutte agambibwa okukuba amasasi gano agamba nti naye yali yetaasa kuba yali awambiddwa.

Bya Kamali James
...

23 1 instagram icon
Abako bekulumuludde! Bwemubanga mwawukana obakungaanyanga nobategeeza!

Abako bekulumuludde! Bwemubanga mwawukana obakungaanyanga nobategeeza! ...

28 3 instagram icon
Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anita Annet Among ayimirizza entuula za Palamenti zonna okutuusa nga 30 July 2024.

Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anita Annet Among ayimirizza entuula za Palamenti zonna okutuusa nga 30 July 2024. ...

35 1 instagram icon