Ekibumbe ky’Ekika ky’Engabi Ennyunga n’Akasimba biteekeddwa ku luguudo Kabakanjagala

Okufaananako Ebika ebirala ebyateeka edda ebibumbe by’Ebika byabwe mu bibanja byabwe ku luguudo Kabakanjagala, bazzukulu ba Kannyana abeddira Engabi Ennyunga ne bazzukulu ba Kabazzi ab’Akasimba nabo batadde ebibumbe by’ebika byaabwe ku Luguudo Kabakanjagala olwafuulibwa olw’ebyobulambuzi.
Owek. David Kyewalabye Male, Minisita w’Obuwangwa ennono n’Obulambuzi, akiikiriddwa Owek. Hassan Kiyemba, omukwanaganya w’Abavubuka mu Minisitule y’abavubuka Emizannyo, n’okwewummuza, Minisita yebazizza nnyo Abataka n’abazzulu mu bika byombi era naabasaba okwongera okukwatira awamu basitule Ebika byabwe n’okujja balamubule ebibumbe bino bamanye emiziro gyabwe nga bwegifaanana.
Omukungu Muyunga Stephen nga ono ye muwanika era omwogezi w’ekika ky’Engabi Ennyunga, nga yakiikiridde Omutaka Kannyana, yeebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olwokusiima oluguudo Kabakanjagala luteekebweko ebibumbe by’ebika era lufuulibwe eky’obulambuzi, yeebazizza Omutaka Kannyana n’Abazzukulu ba Kannyana bonna olwokumusaamu obwesige akulemberemu enteekateeka eno n’okuwaayo ssente, amagezi n’essala okulaba nti enteekateeka eno etambula bulungi.
Katikkiro w’ekika kya Kasimba, Lwanga Edward Buyondo, yaakiikiridde Omutaka Kabazzi, asabye bazzukulu ba Kabazzi okunyweeza obumu mu kika kyabwe basobole okutuuka ku buwanguzi obulala mu nteekateeka ez’enjawulo.
Ebibumbe bino biwezezza omuwendo gwa makumi ana (40) ogw’ebibumbe ebya kateekebwa ku Luguudo luno.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply