Abakulira Eddwaliro ekkulu e Mubende erya Mubende Regional Referral Hospital bakoze Pulojekiti y’okuggya amazzi mu ttaka ng’ebo yawammanse obukadde 86 nga bakukozesa masanyalaze g’amaanyi ganjuba.
Amazzi gano gaakukozesebwa mu Ddwaliro era nga oluzzi luno lwakubawonya ekizibu ky’amazzi wamu n’ebbeeyi yago ebadde ebafuukidde ekizibu nga omwezi amazzi bagasaasanyako ensimbi eziri eyo mu bukadde 200.