Eddwaliro lya MSWNH eryamalawo obukadde bwa ddoola 25 litonnya

Tewanayita myaka gisukka mu 3 nga eddwaliro lya Mulago Specialised Women and Neonatal Hospital (MSWNH) Kampala likwasiddwa Gavumenti, akasolya katandise okutonnya. Okusinziira ku Executive Director Dr. Evelyne Nabunya agamba nti olwokusolya okutonnya kiviiridde langi ku bisenge, plaster wamu n’engalama okwonooneka.
Mu October 3, 2018 Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yaggulawo eddwaliro lino ery’ebitanda 450 nga lyatandika okuzimbibwa mu June 8, 2015 aba Arab Contractors wamu ne Kkamupuni endala okuva e Egypt.
Lino lyazimbibwa ku nsimbi obukadde bwa ddoola 25 nga zewolebwao kuva mu Islamic Development Bank.
Bwebatuukirira Kkontulakita wa Arab Contractors Osman Ahamed Osman yanategeeza nga bwebakozesa ebintu ebitasobola kugumira nkuba y’amaanyi etonnya mu Yuganda.
Rammy Essa, technical manager owa Arab Contractors Uganda Limited, yategeezezza nti bbo bakola omulimu gwabwe era Gavumenti nebawa ne Performance Certificate. Certificate yakolebwa Joe Aita, chief executive officer owa Joadh Consult.
Ono ayongerako nti ensobi ezaliwo nga bazirinako obuvunaanyi mu kkontulakiti bazikolako nga tebanalikwasa Gavumenti. Ono ayongerako nti kati Minisitule y’ebyobulamu yerina obuvunaanyizibwa okudaabiriza ekizimbe kino.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply