Omwogezi wa
Uganda Police Force CP Fred Enanga yavuddeyo nategeeza nga ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obutujju ekya CT bwakyakubye amasasi agatiddewo omutujju eyabadde alina nebissi e Kyebando Erisa ku luguudo lwa Kampala – Gayaaza nga yabadde atambulira ku piki piki ekika kya Bajaj Boxer.
Enanga agamba nti ono okuttibwa yagezezzako okulemesa abasirikale okumukwata kwekumukuba amasasi.
Yategeerekese nga ye Nsubuga Hamid agambibwa okuba lumiramwoyo eyatoloka mu Disitulikiti y’e Pader oluvannyuma lw’enteekateeka zokutataganya okuziika kweyali omumyuuka w’omuduumizi wa Poliisi DIGP Lt. Gen. Paul Lokech okugwa obutaka nga bakutte munne
Enanga agamba nti ono yabadde alina obutemu bwagenda okukola bwatayinza kwatuukiriza nga yasangiddwa be basitoola nebizibiti ebirala.
Byo ebyentambula byasanyaladde nga luguudo lugaddwa okumala essaawa eziwerako.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.