COSASE ekutte Bannamateeka abagambibwa okulya ez’ettaka

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Akakiiko ka Palamenti akalondoola emirimu gy’ebitongole bya Gavumenti aka COSASE akakulirwa Omubaka Joel Ssenyonyi kakizudde nti ensimbi obuwumbi 2 n’obukadde 300 ezigambibwa okuba nga zaali zaasasulwa Omukyala Natalie Namuli nga zaali zakumuliyirira olw’ettaka lye, nga mu ggwanika ly’eggwanga ery’ensimbi zavaayo wabula tezatuuka eri Namuli.
Namuli asambazze eby’okusasulwa ensimbi ezo, sso nga n’ettaka lyebagamba nti lirye talimanyiiko. Ababaka ku Kakiiko ako era bakutte Munnamateeka Kyle Lubega omu ku bagambibwa okujingirira ebiwandiiko kwebabbira ssente ezoogerwako.
Share.

Leave A Reply