CID eyise Omubaka Mbayo

Director, Criminal Investigations Twinomujuni Julius ow’ekitongole ekikola ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Uganda Police Force ekya CID mu bbaluwa gyeyawandiika nga ayita mu Sipiika wa Palamenti yayita eyaliko Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Pulezidenti Esther Mbulakubuza Mbayo okugendayo yennyonyoleko kubigambibwa nti yenyigira mu kufiiriza Gavumenti ensimbi, okukozesa obubi offiisi ye wamu n’obulyake weyaberera Minisita ngalina obuvunaanyizibwa obulondoola emirimu gyekitongole kya Uganda Printing and Publishing Corporation – UPPC mu mwaka 2019-2021.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply