Bobi Wine ayambalidde Ssaabalamuzi Owiny-Dollo

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert Bobi Wine ayambalidde Ssaabalamuzi wa Uganda Owinyi Ddolo bweyavuddeyo nayambalira Bannayuganda abaali bawakanya ekya Jacob Oulanyah okutwalibwa ebweru okujanjabwa nti Baganda. Kyagulanyi agamba nti Ssaabalamuzi yandibadde awa ekitiibwa ekifo kyalimu okusinga okutandika okubuzaabuza Abachooli abakyebuuza engeri omuntu waabwe gyeyafuddemu. Ono n’akulira oludda oluvuganya babadde bazze okukungubagira abadde Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah ku Palamenti.

Share.

Leave A Reply