BOBI WINE AKYALIDDEKO MU MAKA GABAWAGIZI BE ABALI MU KKOMERA

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Enkya yaleero tukedde kukyalako mu maka gabanaffe abakyali mu kkomera e Kitalya. Kinkutteko nnyo bwenkyaddeko mu maka ga Machete Yasin e Bwaise ne wa Johnbosco Sserunkuuma e Nansana. Banaffe bano abali e Kitalya tebalina musango gwebazza wabula bamaze emyezi egiwera mu kaduukulu. Kinzizzaamu amaaso nti Famire zaabwe zigezezzaako okubeera engumu wadde nga waliwo okusoomozebwa olwabaagalwa baabwe obutabaawo.
Mbakubiriza tubabererewo kuba famire zaabwe ziyita mukusoomozebwa kungi. Abakulembeze mu NUP bakugenda mu maaso okubayambako mu ngeri yonna esoboka. Ne ttiimu yaffe eya Bannamateeka ekola kyonna ekisoboka okulaba nti bateebwa.”
Share.

Leave A Reply