Abakulembeze ku ludda Oluwabula Gavumenti nga bakulembeddwa Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine nabalala bagenze ku kkomera e Luzira okukyalira ku Dr. Kizza Besigye. Bano bategeezezza nti tebasobodde kumulaba oluvannyuma lwabakulira ekkomera e Luzira okubategeeza nti ono mugonvu nnyo era awumuddemu tajja kusobola kubalaba.
Wabula bategeezezza nti munne Hajji Obeid Lutale Kamulegeya bamulabye ne Bobi Young, nti Lutale nabaleetera obubaka okuva e Dr. Besigye mwabasabidde obutalwanirira ye yekka nti wabula n’abalala abali mu kkomera.
Bya James Kamali