Breaking
News: Bannakibiina ki National Unity Platform 9 okuli Ssekitoleko Yasin Machete, Patrick Mwase, Sharif Kalanzi, Joseph Muwonge, Abdallah Kintu, Umar News: Pulezidenti wEnsi ya Neyimbira Byange 2026 Zubeda Nalumansi Mukisa aka New Style akwasiddwa Piki Piki empya ttuku okuva mu Simba Automotives, News: Emyaka 33 emabega ku lusozi Nnagalabi Buddo, Kabaka wa Buganda owa 36, Maasomoogi Ronald Muwenda Mutebi II yatuula ku Nnamulondo, eno yensonga
ON NOW Gasimbagane ▶ UP NEXT Weekend Taxi 12:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 1,350 listening Simba FM Live
gasimbagane show photo

On Air

Gasimbagane

Peter Kibazo

10:00 AM - 12:00 PM 10:00 AM - 12:00 PM
News

Ababaka 186 bebatadde emikono ku kiteeso – Ssekikubo

August 2, 2024 · Mubiru Ali
Omubaka wa Lwemiyaga County, Theodore Ssekikubo avuddeyo nafulumya olukala lwa Disitulikiti 37 nga agamba nti Ababaka abava mu Disitulikiti ezo bagaana okuteeka omukono ku kiteeso ekiggya obwesige mu Bakamisona ba Palamenti obwesige.
Ssekkikubo ayongeddeko nti Ababaka abakiikirira Eggye lya UPDF mu Palamenti nabo bagaanye okuteeka omukono ku kiwandiiko kino nga kwekuli n’Ababaka abakiikirira abakadde so nga mu bakiikirira Abakozi, Omubaka Byakatonda Abdulhu, yeyakirizza okuteekako omukono.
Omubaka wa Lwemiyaga County Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Theodore Ssekikubo avuddeyo nategeeza nti Ababaka 186 bebatadde omukono ku kiteeso ekiggya obwesige mu Bakamisona ba Palamenti 4 abagemulira akasiimo akawumbi 1 mu obukadde 700.