Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi wamu n’obukenuzi okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kali wamu ne Uganda Police Force katutte abantu 3 mu Kkooti y’e Makindye nga bano bebakulira ababazzi b’e Nsambya (Nsambya Furniture Traders Agency) bano kuliko; Muleke Moses, Mugoya Kennedy ne Kagiri Edward ku bigambibwa nti babulankanya obukadde 132 ezaali ezokusengula ababazzi. Bano basindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 31 March 2022.
Basatu basindikiddwa ku alimanda lwakukumpanya zababazzi
Share.