Bannayuganda muveeyo mulwanirire ensi yammwe – LOP Mpuuga

Akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avudde nasaba Bannayuganda abawangaalira Ebweru w’Eggwanga obutaggyaamu muliro ku bikwatagana ku Ggwanga lyabwe.
Mpuuga yabategeezezza nti tebasobola kuzimba Ggwanga lyegombesa bantu balala nga bannanyini nsi bagenda mu maaso nokwesammula ebizibu by’Eggwanga lyabwe. Bino abyogeredde Vatican gyeyabadde awerekedde Ssaabasumba Paul Ssemogerere nga Paapa Francis amukwasa Pallium nga Ssaabasumba wa Kampala ng’omukolo gwabadde St. Peter’s Basilica mu Vatican.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply