Bannamateeka ba Kyagulanyi bagobwe – Matau Job Richard

BANNAMATEEKA BA HON. KYAGULANYI BABONEREZEBWE;
Matau Job Richard nga agamba Munnayuganda alumirirwa ensi ye avuddeyo nawandiikira ekibiina ekitaba Bannamateeka mu Ggwanga ekya Uganda Law Society nga ayagala kigobe oba kibonereze Bannamateeka abakiikirira Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine nga agamba bano enfunda eziwerako bavuddeyo ku mikutu gy’ebyempuliziganya nebatyoboola ekitiibwa ky’esiga eddamuzi omuli n’okulebula Ssaabalamuzi Alphonse Owiny-Dollo nti era bino byebyawabye n’omuntu waabwe Kyagulanyi natuuka okwogera ku Ssaabalamuzi.
Bayagala bagobwe era bakangavvulwe kuliko;
1. Munnamateeka Anthony Wameli.
2. Munnamateeka Medard Lubega Sseggona
3. Munnamateeka Shamim Malende
4. Munnamateeka Erias Lukwago
5. Munnamateeka Nkunyingi Muwada
6. Munnamateeka Asumani Basaalirwa
7. Munnamateeka Kiwanuka Abdallah
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply