BANANGE MUYIMBULE OMWANA WANGE ALI MU BULUMI – MAAMA W’OMUBAKA SSEGIRIINYA

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Muky. Justine Nakajumba Maama w’Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform owa Kawempe North, Muhammad Ssegiriinya aka Mr Updates ayozezza ku munye bwalabye mutabani we mu kaguli ku zoom nasaba Gavumenti eyimbule mutabani we kuba amulabye nga ali mu bulumi buyitirivu atasaanidde kubeera mu kkomera.
Ssegiriinya abadde asimbiddwa mu Kkooti ya Buganda Road ow’eddaala erisooka Doreen Karungi nga ayita ku Zoom yegaanye omusango gwokukuma omuliro mu bantu ogwamuggulwako omwaka guno nga gutandika.
Ono asindikiddwa ku alimanda mu Kkomera e Kigo okutuusa nga 29 – October – 2021 oluvannyuma lw’omuwaabi wa Gavumenti Judith Nyinamwiza ategeezezza Kkooti nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso.
Maama wa Ssegiriinya yebuuzizza lwaki mutabani we? Asabye Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni Museveni okusonyiwa mutabani we kuba mulwadde ate ali mu bulumi obuyitirivu. https://youtu.be/WLLT0b_SlJ4
Share.

Leave A Reply