Banange mulekerawo okumpita omubbi – Minisita Lugoloobi

Omubeezi wa Minisita w’ebyensimbi avunaanyizibwa kukuteekerateekera Eggwanga Amos avuddeyo nalajanira abalonzi be e Kayunga obutamuvaamu, nga agamba nti ye si mubbi nga bwebakimuteekako. Lugoloobi agamba nti yewuunyizza abantu abamuyita omubbi olwokuba yomu kubayogerwako abafuna amabaati okuva mu Offiisi ya Ssaabaminisita. Kigambibwa nti Lugoloobi yafuna amabaati 600 wabula gano nagokozesa okuseraka ebiyumba by’embuzi ku faamu ye e Misanga mu Bbaale Sub-County.
Wabula mukwewozaako Lugoloobi yategeezezza nti tasobola kubba mabaati kuba abaddeko nga atonera emizigiti, amakanisa, amasomero wamu n’abantu ssekinoomu amabaati gaaba aguze ku ssente ze.
Ono yategeezezza nti yakasonda obukadde 105 okugulira essomera lya Seed amabaati, kati ngolwo abba atya amabaati 300 wabula bino byonna obwedda abyogera ng’abatuuze bamusekerera. Ono agamba nti yakizudde nti amabaati ga Offiisi ya Ssaabaminisita gaali kikemo kyennyini era nga gabadde gamusuza teyebase kwekugaserukulula ku biyumba by’embuzi ze nagula amabaati amalala ku ssente ze!

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply