Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 91 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

Bamenye emotoka y’emigugu etambula nebabbamu ebyamaguzi

October 11, 2021 · Mubiru Ali
Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Arua etandise omuyiggo gwababbi abamenye emotoka y’emigugu nga etambula eya kkampuni ya California Bus Services nebakuulira n’ebyamaguzi ebibalirirwamu obukadde 20.
Kigambibwa nti ababbi bamenye emotoka ekika kya Fuso nnamba UAJ 797M nga bagisanze erinnyalinnya akasozi k’e Enzeva mu Arivu sub county mu Disitulikiti y’e Arua ku luguudo lwa Arua Nebbi-road ng’ebintu yabadde ebitwala mu Arua.
Kigambibwa nti ddereeva wa Fuso eno, Mohamad Zuli yabadde yekka mu motoka ababbi webagimenyedde nga yabadde alinyalinya akasozi aka kiromita 2.
Kigambibwa nti ababbi bagenze basuula ebyamaguzi nga banaabwe bwebabilonda. Bino byabadde byabasuubuzi be; Kuluva, Odianyadri ne Euata trading centers.
Josephine Angucia, omwogezi wa Poliisi mu ttundutundu lya West Nile Dr Alex Alidria yalonze ebimu ku byamaguzi bino nabitwala ku Arua Central police station.