Bakyuusa obululu bwange mu kulonda kwa 2021 mu Kampala n’emiriraano – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nakalambira nti mu bitundu ebikola Kampala Metropolitan nga muno mulimu Disitulikiti okuli; Kampala, Wakiso ne Mukono ebyava mu kalulu k’omwaka 2021 akoobwa Pulezidenti ebibye bwebyakyuusibwa.

Pulezidenti Museveni agamba nti banyaga akalulu ke akamuweebwa Bannayuganda mu bitundu bino nebakatagga. Bino yabyogeredde ku Kisaawe e Kololo mu nsisinkano ye n’abamu ku ba Ssentebe ba NRM ku byalo mu Kampala. Pulezidenti Museveni agamba nti obululu bwa NRM bwabbibwa mu Kampala nebakatagga era kino nakiteeka ku bantu abalondebwa mu Office of the National Chairman (ONC) olwokulemererwa okukola omulimu gwabwe ebyava mu kalulu kyebyava bikyuusibwa.

Ono agamba nti ONC yalina okulonda ba agenti okuva ku buli kyalo okukuuma obululu naye tamanyi kyabaawo. Wano Pulezidenti Museveni yalagidde akulira ONC eyakalondebwa Hadija Uwizeye, annyonyole ku bino, Uwizeye nategeeza nti ba agenti balondebwa ku byalo era ne ssente zaabwe zebaalina okufuna nezifulumizibwa nto wabula zabbibwa abo abaali bavunaanyizibwa ku nsonga eno. Mu kaseerako ako ONC yali ekulemberwa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Pulezidenti Milly Babalanda.

Add Your Comment