Bakansala ba NRM abalwadde e Fort Portal bawanjagidde Bobi Wine abataase

Bakansala b’ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement – NRM mu Kibuga Fort Portal bawandiikidde Omukulembeze w’ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya Gavumenti ekya National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine okuvaayo adduukirire Bakansala b’ekibiina kya NRM 2 abetaaga obukadde 256 okufuna obujanjabi.
Bakansala bano kuliko; Kenneth Mugabi 44, akiikirira Kagote Ward ngono atawanyizibwa ekirwadde ky’ensigo nga yetaaga obukadde 200 okugenda ateekebwemu ensigo endala mu Buyingi ne Bernard Ategeka akiikirira Kijanju Ward mu Central Division nga yetaaga obukadde 65 okukolebwako ‘hip replacement’ mu Kumi Orthopedic Hospital.
Mu bbaluwa eyawandiikiddwa nga 19-October eyawandiikiddwa Kenneth Kaliba ngono ye Nampala wa NRM owa Fort Portal Central Division NRM agamba nti ayagala Kyagulanyi okubategekerayo ekivvulu kyokusonderako ensimbi mu kibuga Fort Portal basobole okusonderako ensimbi zino.
Kaliba ayongerako nti bagenda ku kitebe kya NRM okusaba obuyambi wabula tebayambibwa kwekusalawo okweyiiyiza ekiyinza okuyamba banaabwe abali mu mbeera embi. Kaliba yagambye URN nti ebbaluwa eno bagiweerezza dda ku WhatsApp ya Kyagulanyi nti era ebbaluwa bakugitwalayo mu butongole ku kitebe e Kamwokya.
Wabula, John Kusemererwa Ssentebe wa NRM owa Disitulikiti y’e Kabarole yategeezezza nti offiisi ye tekimanyiiko era talina kyakukikolera. Kusemererwa agamba nti kyanaku nnyo okuba nti aba NRM bawandiikidde Kyagulanyi so nga bandisoose kumutegeezaako nga tebanasalawo.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu  Njeru municipality, mu Disitulikiti y'e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa.

Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu.

James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu Njeru municipality, mu Disitulikiti y`e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa.

Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu ebigenda okukozesebwa mu kubala abantu.
...

18 1 instagram icon
Nolwaleero lubadde Dj Jet B azze nate akukube omuziki oyite bute! Bakube omuziki baguwulire.

Nolwaleero lubadde Dj Jet B azze nate akukube omuziki oyite bute! Bakube omuziki baguwulire. ...

4 0 instagram icon
N'omuntu akukyaawa nakulukuuta omukuku gw'ebbaluwa naye taba mwangu?! Sheila Gashumba akoze atya Rickman Manrick?! Mpozzi omukulu yagamba ono mutabani wa Kony!?

N`omuntu akukyaawa nakulukuuta omukuku gw`ebbaluwa naye taba mwangu?! Sheila Gashumba akoze atya Rickman Manrick?! Mpozzi omukulu yagamba ono mutabani wa Kony!? ...

2 0 instagram icon
Loodi Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago akomyeewo mu Ggwanga okuva emitala w'amayanja gyeyali agenze okufuna obujanjabi. Ono ayaniriziddwa mukyala we n'abaana ssaako  Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye.

Loodi Mmeeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago akomyeewo mu Ggwanga okuva emitala w`amayanja gyeyali agenze okufuna obujanjabi. Ono ayaniriziddwa mukyala we n`abaana ssaako Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye. ...

3 0 instagram icon