Omukulembeze wa
National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka
Bobi Wine; “Bwetwali tutandika People Power, Gavumenti yatuyita ekibinja ky’abayaaye abali ku muyaga ogujja okuyita. Olwaleero nga wakayita emyaka 2 n’ekitundu gyokka oluvannyuma lwakalulu akaalimu obubbi mu 2021, tutongozza ekitebe kyaffe ekyokulwanirira obwetwaze era amaka ga NUP ne People Power Movement amaggya.
Ekitebe kino kijjukizo kyabanaffe abatiddwa, abatulugunyizibwa nabalemaziddwa mu myaka 3 nga bavuddeyo okwogera kukunyigirizibwa.
Si maka gaffe maggya kyokka wabula kijjukizo eri banaffe abattibwa nga; Yasin Kawuma, Ritah Nabukenya, Francis Ssenteza, Dan Kyeyune, Hakim Ssekamwa, n’abalala bangi. Era kijjukizo eri abatusooka okulwanirira obwetwaze nga bakoze ngomumuli gyetuli nga; Dr.
Kizza Besigye, Dr. Kawanga Ssemogerere, n’abalala. Neebaza Ababaka baffe aba Palamenti wamu n’abakulembeze abalala abatuwadde ensimbi n’ebintu ebirala ebitusobozesezza okutuuka kino. Nebaza Ssaabawandiisi waffe @DavidLRubongoya ne ttiimu ye ku Kitebe abakoze kyonna ekisoboka okulaba nti tutuuka ku kula ly’ekitebe kino ekiggya.
Mu ngeri ey’enjawulo njagala okukwebaza Dr. Besigye olwokukiriza okubaawo era n’oyogera ngomugenyi omukulu ku mukolo guno.
Mu ngeri yemu nebaza Loodi Mmeeya
Erias Lukwago, Hon. Miria Matembe, Counsel Nicholas Opiyo, Mr. Saddam Gayira, Mr. Harold Kaija n’abagenyi ab’enjawulo. Mwebale kubaawo.”
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.