Babiri bakwatiddwa n’emmundu ya Poliisi e Bugiri nga bagitunda

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nga bwezudde emmundu yaayo eyabbibbwa e Bugiri. Emmundu nnamba UG POL 565823246 34729 yezuuliddwa n’amasasi 28 ku kyalo Kagali, mu Gombolola y’e Kapyanga mu Disitulikiti y’e Bugiri.
Emmundu enoi yabbibwa okuva ku Musirikale wa Poliisi PC Omara Richard No. 40784 ku ssaawa nga emu ey’ekiro bweyali agenda okukuuma Chief Magistrate wa Iganga.
Poliisi egamba nti yatemezeddwako nga bwewaliwo omusajja eyategeerekeseeko nti ye Hakim Maguma 36 ku kyalo Buigula, mu Gombolola ye Buyanga mu Disitulikiti y’e Bugweri wamu ne Abbas Dholimala, 38, omutuuze ku kyalo Kagali, mu Gombolola y’e Kapyanga mu Disitulikiti y’e Bugiri ababadde batunda emmundu obukadde 7.
Share.

Leave A Reply