Babiri bakwatiddwa lwakusangibwa na Pistol Entebe

EMMUNDU ANI YAGIKUWA?:
Poliisi mu ttundutundu lye Entebe ekutte Tandeka Allan Kanyesigye 38, nga mutuuze we Buzzi Cell Kajansi Town Council lwakusangibwa namundu gyatalinaako lukusa kubeera nayo wamu ne Osinde Omalla John ow’e Garuga agambibwa okugimuwa.
Poliisi okumukwata yamaze kukola kukubera mu maka ga Kanyesigye gyeyasanze emmundu ekika kya basitoola nga nzirugavu CZ75B CAL.9 LUGER PISTOL n’amasasi 10.
Ebirala ebyasangiddwa mu maka ge mwabadde ebyambalo ebyebibomboola 3 n’ebiwandiiko ebirala ebiraga nti yali mukozi mu kitongole ky’ebyokwerinda ekimu wabula navunaanibwa gw’okuvaamu mu ngeri emenya amateeka nasibwa emyaka 2 Luzira Upper Prison n’oluvannyuma nagobwa.
Mukubuuzibwa Kanyesigye, yategeezezza nti emmundu eno yamuweebwa mukwano gwe Osinde Omalla John, naye eyakwatiddwa. Emmundu yaweereddwa aba forensic okwekebejjebwa okuzuula oba yali ekozeseddwako mu bikolwa ebimenya amateeka.
Bano bombi bakuumirwa ku Poliisi y’e Entebe.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply