Baako ettoffaali lyossa ku Buganda – Oweek. Kawuki

Tamale Frank abadde memba w’ekibiina kya Abagalagala ba Kabaka ab’essingo yaziikiddwa e kimuli Busujju.
Minisita omubeezi wa Gavumenti ez’ebitundu Oweek. Joseph Kawuki yakiikiridde Obwakabaka mu kuziika, yasinzidde wano n’asaba buli muntu okubaako ettoffaali lyassa ku Buganda ng’asinziira waali mu mbeera gyalimu naategeeza nti Tamale kino akikoze nga abugiriza kabaka buli lwalambula.
Abeetabye mu kuziika: omuk. John kitenda omuwanika wa Nkuluze, Mw. Mugisha Patrick Ssentebe wa Mityana district, ab’ebyokwerinda kwa Beene, ebibiina: Abagalagala ba Kabaka abe Ssingo, Kabaka Mwennyango, Baganda Nkerettanyi.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply