Awakanidde okunywa obuveera bwa Waragi 12 akomye ku 11 n’afa – Kamuli

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Musajja mukulu e Kamuli yeewanidde ku banne nti asobola okuwunzika obuveera bwa Waragi 12 nga tammuzza bumuserengesezza e zzirakumwa.

George Kadingidi myaka 26 nga mutuuze ku kyalo Magogo ekisangibwa mu Gombolola y’e Kisozi mu Disitulikiti y’e Kamuli abadde yaakeekatankirako obuveera 11 n’atondoka n’agwa eri era n’assa ogw’enkomerero .

Omusasi waffe Solomon  Baleke obuuyi obwo agamba nti empaka zino ez’okuwakanira okunywa Waragi zisusse obungi mu bitundu bya Busoga era kumpi buli mwezi ebaayo afiira mu mpaka z’okunywa Waragi.

Share.

Leave A Reply