Entries by Mubiru Ali

Abantu 10 bebattiddwa e Mityana mu mwezi oguyise

Abantu abawerera ddala kkumi bebattiddwa mu bbanga lya mwezi gumu mu Disitulikiti y'e Mityana nga ku bano omukaaga abakazi, abasajja abasstu n'omwana wa mwaka gumu n'ekitundu. Abantu abano abattiddwa babadde bakubwa bukubwa ngeri ya byuma era nga basangiddwa mu magombolola omuli ;  Myanzi, Bikers , Maanyi, Kikandwa ne ttawuni kkanso y'e Ssekanyonyi. Omwogezi wa Police mu […]

Owa NRM lukulwe afiiridde mu kkomera – Jinja

Munnakibiina kya NRM era omuwagizi waakyo lukulwe mu Disitulikiti y'e Jinja afiiridde mu kkomera ly'e Kirinya gyeyasibibwa oluvannyuma lw'okulemererwa okuliyirira owa FDC eyamuwangula mu kkooti mu musango gw'akalulu . Patrick Bakumweire ow'emyaka 50  abadde omukunzi omukuukuutivu owa NRM mu Jinja nga yavuganya  ku kifo kya Ssentebe w'eggombolola y'e Budondo n'awangulwa Wabika Ayubu owa FDC kati z'embuyaga […]

Kanyama Troy agambibwa okukuba Mowzey Radio Police agiri mu ttaano

Kanyama agambibwa okukuba omuyimbi omugenzi Moses Ssekibogo alias Mowzey Radio enkya ya leero akyusiddwa n'azzzibwa ku Police y' Entebbe etwala ekitundu mw'agambibwa okuddiza omusango. Godfrey Wamala nga yakazibwako lya Troy yagombeddwamu obwala mu kiro ekiyise e Kyengera mu Disitulikiti y'e Wakiso oluvannyuma lw'abatuuze okutemya ku Police nga bamulamye mu nju ya mukwano gwe gy'abadde yeekukumye.  […]

Omwana afiiridde mu mugga nga ataasa nnyina – Mbale

Omwana omuwala wa myaka 16 agudde mu mugga Namatala okuliraana ekibuga Mbale n'afiiramu bw'abadde ataasa nnyina amazzi gwegabadde gatwala . Ekikangabwa kino kugudde ku kyalo Bunyolo ekisangibwa mu ggombolola y'e Kamonkooli mu Disitulikiti y'e Budaka . Kitalo !! Abeerabiddeko n'agaabwe bagamba nti omwana ono kati omugenzi abadde agenze ne nnyina ku mugga okwoza engoye wabula […]

Omwaka gw’embwa mu ba China gusonze

Abachina mu Yuganda batandise okwegatta ku nsi yonna okwaniriza omwaka gwabwe gwebayita omwaka gw' Abachina ogw'embwa. Guno gwe mwaka ogusinga okuba ogw'ebyafaayo mu China era nga mu mwaka guno,  biba bikujjuko byennyini ebiwedde emirimu era nga wano mu Yuganda gujja kutongozebwa nga ennaku z'omwezi 16 Mukutulansanja omwaka guno era guyitibwa SRING FESTIVAL.  Guno gubadde n'ebyafaayo […]

Abategesi b’ebivvulu baagala Alipoota ku ttemu erikolebwa ku bali mu by’okuyimba

Abateesiteesi b'ebivvulu wano mu ggwanga basabye  Gavumenti efulumyewo mangu  Alipoota ezikwata ku ttemu erikolebwa ku Bannakatemba n'abayimbi awamu n'abawandiisi b'ennyimba. Bano bagamba nti bannaabwe bangi abafudde mu ngeri efaanana nga eya Mose Radio naye tewali alipoota yonna yali ekoleddwa ab'ekitongole ekya Police.  Basinzidde mu kukungubagira Moses Ssekibogo Nakitinge alias Mose Radio e Lubaga awamu n'e […]

Mujjenga mu masinzizo nga muli balamu – Ffaaza Kateregga mu kusabira Radio

Abayimbi,  Bannakatemba n'abavubuka bonna basabiddwa okweyuna amasinzizo nga eno basobola okuzimbirayo obulamu bwabwe ate n'okufunirayo okuwonyezebwa okw'endowooza n'emitima gyabwe.   Ffaaza Deogratious Kiibi Kateregga asinzidde mu Lutikko e Lubaga mu kusabira Omugenzi Mose Radio n'gamba nti :  " Okugenda mu ssinzizo kikukakatako,  abavubuka abali wano twetaaga Mukama,  Mujjenga mu masinzizo nga muli balamu, tetubalinze nga […]