Entries by Mubiru Ali

Obutabanguko mu maka bukudde ejjembe e Mubende

Ebikolwa eby'obutabaguko mu maka byeyongedde obungi  e Mubende nga kati byeraliikirizza abavunaanyizibwa ku mbeera z'abantu byabagamba nti bivudde ku bwavu obususse ennyo mu bantu.  Maria Ndagire akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku mbeera z'abantu mu Disitulikiti y'e Mubende agamba nti mu bbanga ery'emyezi omukaaga bafunye emisango  lukaaga ataano mu etaano (655) egy'obutabanguko mu maka mu Disitulikiti y'e […]

Abayizi ba S.4 bafiiriddewo mu kabenje – Bombo

Kitalo,  abayizi ba Ndejje SS Luweero basatu bafiiriddewo mbulaga  mu kabenje akagudde ku 19 ku luguudo oluva e Kampala  okudda e Bombo,   Abayizi  bano babadde bava ku ssomero  kukebera ku ngeri gyebaakozeemu ebibuuzo  byabwe ebya S. 4 emmotoka yaabwe mwebabadde beevugira etomereganye ne Ttipa bwenyi ku bwenyi era kwekufiirawo.  Abafudde be,  Male Vincent, Sewajje […]

Police eggye emisango ku Kirumira

Police akawungeezi ka leero eggye emisango ku eyali DPC wa Buyende Muhammad Kirumira oluvannyuma lwa omuwaabi wa Police Catherine Kusemererwa okutegeeza kkooti ya Police nti talina bujulizi bumala  buluma Kirumira ku misango ebiri ogw'okutulugunya wamu n'kukozesa amaanyi agasukkiridde. Kusemererwa atageezezza kkooti nti Tumusiime Milton munnamawulire wa Red Pepper  yagaanye okuwa obujulizi ku Kirumira nti kubanga tabangako […]

Abazadde e Luweero tebasalikako musale lwa bigezo ebyakwatiddwa

Abazadde mu Disitulikiti y'e Luweero banyiivu bya nsusso olw'ekitongole ky'ebigezo okulemera ebigezo by'abaana baabwe abawererera ddala 448. Ekitongole ekivunaanyizibwa ky by'ebigezo mu ggwanga eggulo kyafulumizza ebyava mu bigezo bya S.4 ebya 2017 era nekitegeeza nti bwekikutte ebigezo by'abayizi 4525 nga bateeberezebwa okubikoppa ekyavumiriddwa ennyo Ssentebe w'ekitongole kino Kakensa Okwakol. Mu Disitulikiti y'e Luweero, amasomero agaakoseddwa mwemuli; […]

Ogwa Ssebuufu owa Pine gukyalanda

Kkooti enkulu mu Kampala leero ezzeemu okuwulira omusango gw'obutemu oguvunaanibwa nannyini kibanda ky'emmotoka ekya Pine – Haji Muhammad Ssebuufu.  Ssebuufu avunaanibwa omusango gw'okutulugunya omusuubuzi Donah Betty Katushabe n'amutta olw'okulemererwa ebbanja lya bukadde mwenda ezaali zaasigalayo ku mmotoka Katushabe gyeyagula ku Pine.   Ku bbalaza ya ssabbiiti eno Ssebuufu ne banne omusanvu bwebavunaanibwa baaleetebwa mu kkooti mu […]

Ab’eddwaliro lya Case bagenda kuddiza Famire ya Radio obukadde 29

Abakulira eddwaliro lya Case Hospital mu Kampala bagamba nti bagenda kuwaayo eri Famire y' Omugenzi Mowzey Radio obukadde 29 ezaali zisasuddwa ku bujjanjabi mu ddwaliro lino. Mowzey yaleetebwa mu ddwaliro lino ng'ali mu mbeera mbi okuva mu ddwaliro ly'e Nsambya  era n'ateekebwa mu kasenge k'abalwadde abali mu mbeera embi ddala wabula nga okusooka weetaagisaawo ssente okumujjanjaba […]

Abalenzi beerisizza nkuuli mu bya S.4

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by'ebigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board kifulumizza ebyava mu bigezo bya S. 4 eby'omwaka 2017 era nga abayizi ab'obulenzi bakoze bulungi okusinga abawala wabula nga essomo ly'olungereza n'ebya ssaayansi bikoleddwa bubi.  Ssaabawandiisi w'ekitongole kino Daniel Odongo agambye nti abayizi abaatuula ebigezo bya 2017 baali bangiko okusinga abaatuula mu mwaka 2016. […]

Palamenti evuddeyo ku ky’amasomero okwongeza ebisale

Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by'enjigiriza kagamba nti kagenda kuyita abakulira Minisitule y'ebyenjigiriza balabikeko eri akakiiko kano bannyonnyole lwaki bakkirizza amasomero g'obwannannyini okujeemera ekiragiro kya Gavumenti negongeza ebisale by'essomero ssaako n'okukana abazadde ebyetaago by'essomero ebingi Kino kijjidde mu kiseera nga olunaku lwa jjo olusoma olusooka lwatandise mu butongole wabula amasomeo mangi gaajeemedde ekiragiro kya Minisitule eky'obutetantala […]

Ddereeva atomedde omukazi n’afa awenjebwa buseenene

Police e Lugazi eri ku muyiggo gwa ddereeva wa mmotoka  atannategeerekeka mannya ge atomedde omukazi n'affirawo enkya ya leero bw'abadde ne bba ku pikipiki mu Mabira nga badda Kampala.  Omusajja ye asimattuse amagombe wabula nga wetwogerera ali mu mbeera mbi mu ddwaliro e Kawolo gyeyaddusiddwa .  Kibi  ddala !!