Entries by Mubiru Ali

Pulezidenti wa Burundi Nkurunziza tagenda kuddamu kwesimbawo mu 2020

Pierre Nkurunziza pulizidenti wa Burundi eyakamala okuwangula akalulu k’ekikungo akamukiriza okukulembera Burundi okutuusa 2034. Ono abadde pulezidenti wa Burundi okuva mu 2005. Nkurunziza agamba siwakwesimbawo kisanja kirala yadde nga ssemateeka yakyuusibwa nebajjawo ekkomo ku bisanja ebyali ebibiri era nga kino teyakikola kuyamba ye wabula omuntu addako. Era yetegeezezza nti ajja kuwagira oyo yenna anawangula akalulu […]

Omu akubiddwa essasi naafa nga Poliisi etaasa abadde awamba omwana

Omuntu omu akubiddwa essasi n’afiirawo ate omulala nabuukawo n’ebisago ebyamaanyi mu ttawuni ye Busia poliisi bwekubye mu bantu amasasi wamu ne ‘Tear Gas’ okugezaako okugumbulula abatuuze ababadde balumbye poliisi okukuba  eyabadde ateberezebwa okuwamba omwana. Eyafudde ye Fred Musiba omutunzi w’ennyanya mu katale ka Sofia ne Musa Mayende eyalumizddwa nga yawereddwa ekitanda mu ddwaliro e Tororo […]

Abantu 25 bebasangiddwa nga bafudde mu myezi 5

Poliisi mu bitundu bya Kampala n’emiriraano egamba nti abantu 25 bebasangiddwa nga bafiiridde mu nnyumba zaabwe mu myezi ettaano egiyise nga kubano 4 baali bakazi. Poliisi egamba nti kirowoozebwa nti bano bandiba nga baafa kiziyiro, ebiragalalagala, obutwa, obulwadde n’ebirala naye nga nokunoonyereza ku kyagenda mu maaso. Poliisi egamba nti bano baali wakati w’emyaka 20 ne […]

Poliisi yezoobye n’aba Takisi mu Lubigi

Poliisi yezoobye n’aba Takisi mu Lubigi nga babasengula okuva webadde bakolera mu Lubigi okubazza mu kifo ekitegegekeddwa obulungi. Poliisi egamba nti egezaako okukendeeza omugoteko gw’emotoka ogubadde guleetebwa emotoka ezitikira mu luguudo.

Abantu 10 bebafiiridde mu kabenje k’ennyonyi mu nsozi z’e Aberdare mu Kenya

Epipapajjo by’ennyonyi eya FlySax 5Y-CAC eyabula gyebuvuddeko kulw’okubiri bisangiddwa mu kibira kye Aberdare mu nsozi z’e Aberdare. Abantu 10 ababadde ku nnyonyi eno bonna bafudde. Gino gigiddwayo negitwalibwa mu ggwanike ly’e ddwaliro lya Njambini gigibweyo olwaleero gitwalibwe ku ‘Lee Funeral Home’ okusobozesa abantu okulondako ab’enganda zaabwe. Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’ennyonyi mu ggwanga lya Kenya ekya […]

Poliisi ekutte omuvubuka lwakuwamba mwana wa Landlord

Poliisi ya Kira Division ekutte omuvubuka Jjuuko Derrick nga wamyaka 20 lwakuwamba mwana ow’omwaka ogumu okuva ku landlord we e Bulindo Kiwologoma Municipality Wakiso District. Maama w’omwana ono Juliet Nankunda yaddukira ku poliisi ye kiwologoma nagulawo omusango era nawaayo ne nnamba z’essimu ez’omuvubuka ono gwebatandika okunooya. Nankunda agamba nti yalina emirimu gyakola Jjuuko namusaba amukwatireko […]

Abasajja bana abasuubirwa okuba abayizzi bakwatiddwa e Lwengo n’ennyama y’engabi

Sseremba Ben, Nanduli Ronald, Mugerwa Joseph, Nyanzi Abdu ne Musinguzi Ronald nga yabadde avuga emotoka mwebabadde ye adduse, bakwatiddwa n’ennyama y’engabi nga ekika ky’engabi kino kyekisingayo obunene era nga kisangibwa mu kkuumiro ly’ebisolo erya ‘Lake Mburo National Park. Bano babadde bagitambuliza mu motoka ekika kya Premio nnamba UAM 423X nga babadde ne Kilograms 350. Bano […]